Ecclesiastes 9:7-10

7 aGenda olye emmere yo ng’osanyuka, onywe ne wayini wo nga weeyagala; kubanga Katonda asiimye ky’okola. 8 bYambalanga engoye ennyonjo
Okwambala engoye ennyonjo nga njeru n’okwesiiga amafuta, y’engeri Abayudaaya gye baakuumangamu ennaku zaabwe enkulu.
, era weesiigenga n’ebyakaloosa.
9 dSsanyukanga ne mukyala wo gw’oyagala ennaku zo zonna, mu bulamu buno obutaliimu, Katonda bw’akuwadde wansi w’enjuba, kubanga ekyo gwe mugabo gwo mu kutegana kwo kw’oteganamu wansi w’enjuba. 10 eBuli omukono gwo kye gugenda okukola, kikole n’amaanyi go gonna; kubanga teri mulimu wadde okulowooza, oba okutegeera wadde amagezi emagombe gy’olaga.

Copyright information for LugEEEE